Abantu abali mu nkaaga ababadde bavunaanibwa emisango gya naggomola omuli; abasobya ku baana abato, obutemu, obwakkondo n’emirala omuli abasobya ku bakyala olw’empaka, leero bakkirizza nti emisango gino baagizza .
Bano okukkirizza kino babadde mu kkooti enkulu mu Kampala nga bayide mu nteegeeragana etuukiddwako wakati waabwe n’ekitongole ekya Justice Law and Order Sector era bano okukkiriza emisango gyabwe basaliddwa ebobonerezi ebisaamusaamu omuli okusibwa omwaka gumu , ebiri , kkumi n’ebirala , nga bino bibaweereddwa omulamuzi Wilson Masalu Musene .
Ab’ekitongole kino bagamba nti enteekateeka eno ekoleddwa okusobola okukendeeza omujjuzo mu makomera .