Abasajja abana ku abo abataano abatta Omuchina e Mukono basindikiddwa mu kkooti enkulu.
Omulamuzi w'eddala erisooka mu kkooti e Mukono Mariam Nalugya asidise omusango gw'abasajja abana ku abo abataano abateberezebwa okuba nga beebaasindirira ebyasi Musigansimbi eyali akulira kkampuni ya Nile Steel and Plastics company e Nangwa Mukono mu ggombolola ye Nama, mu kkooti enkulu.
Bano kuliko Francis Ogwal 30 nga mukauumi akola ne kkampuni y'obwannanyini eya Global paper esangibwa mu Kigombya, Joseph Nalondah 32 amanyiddwa nga Katala omuzimbi nga mutuuze w'e Mutungo Zone IV e Nakawa, Edson Musiguzi 31 omusuubuzi nga mutuuze w'e Nansana Wakiso ssaako ne Omala Kokasi 29 nga makanika mu Coca-Cola.
Kigambibwa nti bano ne munnabwe atannasindikibwa mu kkooti enkulu Fred Gatukaya 45 amanyiddwa nga Fredrick Edward kaluga Muleefu nga mutuuze wa Banda Zone 11 Nakawa Divizoni nga 1/9/2017 baasindirira Yung Ye Su eyali akulira kkampuni ya Nile Steel and Plastics ebyasi ebyamujja mu budde olw'okumulumba mu kkampuni eno nebamukana ensimbi wabula bweyagaana nebamusindirira ebyasi ebyamuleka ng'ali mu mbeera embi , n'oluvannyuma n'akutukira mu ddwaliro lya Mukono Church Of Uganda Hospital gye yali atwaliddwa.
Banno okutta Omusigansimbi ono beefula ba kkasitoma abaali bazze okugula amabaati mu kkampuni eno kyokka bwe baatuuka munda ne beefuulira omukazi ono era wakati mu kanyoolagano akaali omu yafeesi kwekumukuba ebyasi.
Nalugya tabaganyiza kubaako na kyebanyega kuba omusango ogubavunaanibwa gwa nnaggomola nga kkooti enkulu yokka y'erina embavu eziguwulira.