Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma entobazzi mu ggwanga baliko ebibira bya Kalittunsi byebasaanyizzaawo e Mityana nga bino bannannyinibyo banyoomoola amateeka agakwata ku ntobazzi nebalyoka bakkira entobazzi zino okuzisinbamu Kalittunsi ekiviiriddeko n’ezimu ku zo okuggwamu amazzi .
Mu bimu ku bifo awasaanyiziddwa n’okukuulibwa kalittunsi mwemuli; Olutobazzi omuva amazzi ekitongole ekibunyiza amazzi ekya National Water and Sewage Coperation (NWSC) gekitambuza e Mityana nga lusangibwa ku kyalo Nakatongooli mu Municipaali y’e Mityana .
Akulira ekitongole ky’e by’entobazzi e Mityana Yasin Bbira yaakuliddemu ekikwekweto kino n’agamba nti beesanze nga abalina kalittunsi ate bakozesa eddagala ery’obutwa okukufuuyira omuddo ate ne lidda mu mazzi ekintu eky’obulabe .
Ategeezezza nti abamu ku balima mu ntobazzi zino bangi basima emyala nebeekanga nga bakyusizza entambula y’ensulo z’amazzi ezigabirira emigga nga kino nakyo kiviiriddeko emyala okukala .