Abavuzi ba takisi ku siteegi y’e Bwaise ku luguudo lwa Northern Bypass batabuse ne beekalakasa nga bawakanya embeera mwebakolera. Bano basoose mu lukiiko mwebasisinkanidde RCC wa Kampala, Faridah Mayanja Mpiima kyokka luno luyiise oluvannyuma lw’okulemererwa okukkiriziganya.
Bwe bazzeeyo ku siteegi we bakolera, basanzeewo omulambo ogw’olubuto olwagiddwamu ekibaggye mu mbeera ne baziba oluguudo nga bagamba nti kisusse olw’okuba nti mu mwezi gumu baakabasuulira emirambo gy’embuto eziggyiddwaamu mukaaga okuli n’egyabalongo.
Bano bazibye oluguudo oluva e Namuŋoona okudda ku Kaleerwe okumala ekitundu ky’essaawa, omulambo gw’omwana abadde ow’obuwala ng’ateberezebwa okuba ow’emyezi munaana bagusudde mu luguudo wakati ekiviriddeko entambula okusannyalala.
Francis Ssemakadde akulembera siteegi eno agambye nti obuzibu mu kifo we bakolera buva ku kibinja ky’abantu mukaaga abaali bakozi bannaabwe . Oluvannyuma Poliisi okuva e Kawempe bazze ne kabangali kwe batisse omulambo okugutwala mu ggwanika e Mulago.
RCC Mayanja agambye nti kituufu aba takisi ye yabayiise mu lukiiko kyokka lwayiise kuba bazze si beetegefu kuwuliriziganya naye.