Abavuzi b’ebimotoka by’emigugu bazinzeeko Wofiisi ya RDC – Mubende

Omubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti ye Mubende atuuyanidde mu Yafeesi ye enkya ya leero abavuzi b’ebimotoka ebyettissi by’emigugu bwebasazeeko Yafeesi ye .

Bano okumulumba kiddiridde emmotoka zaabwe okuwalulwa ne ziggyibwa webabadde bazisimbye mu kifo webakolera ne zitwalibwa ku CAWODISA ekifo ekyateekebwawo ekusimbamu emmotoka enneetissi ekya UPDF e Mubende .

Beyunga asanze akaseera akazibu okunyonnyola wamu n’okuwooyawooya abantu bano ababadde beeridde omuguju nga bagumbye ku Yafeesi ze .

Ye amyuka Ssentebe w’ekibiina ekigatta abagoba b’emmotoka zino ekya Tukolere wamu Mubende Dealers Co-operative Society William Kawere ategeezezzza nti ekibaggye mu mbeera be basirikale ba UPDF ne Police e Mubende okuwalula emmotoka zaabwe nebazitwala ku CAWODISA ekiviiriddeko n’ezimu okwonooneka kuba zaabadde zitisse  .

 

Leave a Reply