Abawagizi ba John Patrick Amama Mbabazi okuva mu Disitulikiti, Luweero, Nakaseke, Nakasongola, basanyukidde ekya Mbabazi okwesimbawo obwa Namunigina nga bweyalangiridde.
Abawagizi bano baabadde bakungaanidde wali e Kasana Luwero okutema empenda z’okunoonyeza omuntu waabwe akalulu. Era bongeddeko nti kikoze bulungi okwewala endooliito ezaalibadde mu kibiina kya NRM.