Abawagizi ba Minisita Lugoloobi beyiye ku Kkooti e Kololo

Ab’oluganda, abemikwano wamu n’Abawagizi b’Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byokuteekerateekera Eggwanga Amos Lugoloobi bakedde kweyiwa ku Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo mu bungi nga balindirira omuntu waabwe okuleetebwa mu Kkooti okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa. Ono avunaanibwa omusango gwokwezza agamu ku mabaati agaali ag’abantu abayinike ab’e Karamoja nga gasangibwa yagaseresa ebiyumba by’ebisolo bye ku ffaamu ye.

Leave a Reply