Abawagizi ba Muhoozi balongoosezza ekibuga

Abawagizi b’omuduumizi w’eggye lya UPDF eryokuttaka Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba bakedde kuyisa bivvulu mu kibuga Kampala wamu n’okuyonja ebifo eby’enjawulo. Bano begatiddwako Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala, Hon. Hajjati Minsa Kabanda, Minisita Hon. Ogwang, Eyaliko Minisita Nakiwala Kiyingi ne Ssentebe Salim Uhuru. Byonna byawomeddwamu omutwe Chairman Micheal Nuwagira aka Toyota.

Leave a Reply