Abawagizi ba NUP bangi abakyali mu makomera – David Lewis Rubongoya

Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya; “Nga tuvuddeko katono ku ky’abawagizi ba NUP abavunaanibwa mu Kkooti y’amaggye, waliwo abawagizi abalala abavunaanibwa emisango egyekuusa ku byobufuzi mu Kkooti. Abamu ku bano babadde ku alimanda okumala ebbanga erissukka mu mwaka ate abalala ebbanga eriweza omwaka naye tebavunaanibwanga! Bonna bazooka kuggalirwa okumala ebbanga nga babatulugunya bwebaali tebanatwalibwa mu Kkooti.

Bannamateeka baffe bakola ekisoboka, wabula kyabuvunaanyizibwa okusitulira ffenna awamu eddoboozi ku bikolwa ebitali mu mateeka ebikolebwa ku b’oludda oluvuganya.

  1. Magala Umar
  2. Muyodi Hamidu
  3. Male Sualiman
  4. Kairugaba Wilber
  5. Kalyango Muhamudh
  6. Issa Makumbi
  7. Faridah Masaba
  8. Katumba Abdallah
  9. Ssekidde Hamidu
  10. Resty Birungi Nabossa
  11. Abdul Katumba
  12. Ssenyonga Vincent Wotakyala
  13. Muwonge Ibra
  14. Opio Patrick
  15. Miti Faizo
  16. Nakalema Tasha “

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Nasser Nduhukire aka Don Naseer asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa omusango gwokukusa abaana nekigendererwa ekyokubakozesa ebikolwa ebyokwegatta. Ono avunaaniddwa ne Promise Gatete olwokutambuza omuwala owemyaka 16 nga bamuggya ku Tagore Apartments ku Accacia Mall nebamukweka e Kito mu Kita okumala enaku 3.
Bano basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira nga bwebalindirira okusindikibwa mu Kkooti Enkulu kuba omusango gwenavunaanibwa gulina ekibonerezo kyakuttibwa singa guba gubasinze.

Omulamuzi Ronald Kayizzi alagidde bano bakomezebwewo nga 8-October. 
Bya Christina Nabatanzi 
#ffemmwemmweffe

Nasser Nduhukire aka Don Naseer asimbiddwa mu maaso g`omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa omusango gwokukusa abaana nekigendererwa ekyokubakozesa ebikolwa ebyokwegatta. Ono avunaaniddwa ne Promise Gatete olwokutambuza omuwala owemyaka 16 nga bamuggya ku Tagore Apartments ku Accacia Mall nebamukweka e Kito mu Kita okumala enaku 3.
Bano basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira nga bwebalindirira okusindikibwa mu Kkooti Enkulu kuba omusango gwenavunaanibwa gulina ekibonerezo kyakuttibwa singa guba gubasinze.

Omulamuzi Ronald Kayizzi alagidde bano bakomezebwewo nga 8-October.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
...

0 0 instagram icon
Omuliro gukutte essomero lya Side View Side View Nursery and Primary School e Mbuya-Kinawataka mu Nakawa mu kiro ekikeesezza olwaleero ebizimbe ebisinga obungi nebiggwawo.
Sipiika wa Nakawa Luyombya Godfey ne Councillor Kiberu Ali batuuseeko mu kifo kino okulaba embeera nga bweri.
#ffemmwemmweffe

Omuliro gukutte essomero lya Side View Side View Nursery and Primary School e Mbuya-Kinawataka mu Nakawa mu kiro ekikeesezza olwaleero ebizimbe ebisinga obungi nebiggwawo.
Sipiika wa Nakawa Luyombya Godfey ne Councillor Kiberu Ali batuuseeko mu kifo kino okulaba embeera nga bweri.
#ffemmwemmweffe
...

34 1 instagram icon
Nolwaleero tuli bakukeesa nga Dj Jet B atukuba omuziki! Egenda kubeera nguliko yennyini. Tomusubwa

Nolwaleero tuli bakukeesa nga Dj Jet B atukuba omuziki! Egenda kubeera nguliko yennyini. Tomusubwa ...

5 0 instagram icon
Omukulembeze wa Forum for Democratic Change ekiwayi ky'e Katongo Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti okusinziira ku bitambula kati ku mukutu gwa X ebiwandiikibwa Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga Gen. @Muhoozi Kainerugaba biraga nti yandiwamba kitaawe akaseera konna.
#ffemmwemmweffe 
Bya Kayanja Nasser

Omukulembeze wa Forum for Democratic Change ekiwayi ky`e Katongo Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti okusinziira ku bitambula kati ku mukutu gwa X ebiwandiikibwa Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga Gen. @Muhoozi Kainerugaba biraga nti yandiwamba kitaawe akaseera konna.
#ffemmwemmweffe
Bya Kayanja Nasser
...

59 1 instagram icon