Abantu bataano bafiiriddewo mbulaga ate abalala mwenda nebaddusibwa mu ddwaliro nga taasulewo taasiibewo y’ali ku mimwa gy’abantu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje ddekabusa mu mutala Ssenene ku luguudo oluva e Mpigi okudda e Gombe – Kibibi.
Abantu bano babadde bawagizi ba ttiimu y’essaza lya Bulemeezi nga babadde bagenda kuwagira ttiimu yaabwe nga ebiisana ne Gomba mu mipiira gy’amasaza e Gomba era nga Takisi mwebabadde ebadde ewenyuka egyakaweewo yefulungudde emirundi egiwerako okukkakkana nga bangi baluguzeemu obulamu.
Ayogerera Police mu bitundu bya Katonda, Phillip Mukasa akakasizza akabenje kano n’agamba kavudde ku kuvugisa kimama. Kitalo