Abayimbi okuli Henry Tigan ne Buchaman bakoze ekibiina n’omulamwa gw’okugoba eby’obufuzi mu kuyimba nga kino bakituumye ‘Yut A Yut’ ekivvunnulwa nti omuvubuka asigala muvubuka. Bano nga bali wamu ne Kian Banks bakoze oluyimba ‘Dikuula’ omuli obubaka obuvumirira bannabyabufuzi n’abantu abalala abakozesa abavubuka okutuukiriza ebigendererwa byabwe.
Bano bagamba nti ekisaawe ky’okuyimba kyolekedde okusaanawo singa kibuutikirwa ebyobufuzi kuba bijjudde obukyayi n’empalaana nga tosobola kubireeta mu kuyimba okugatta abantu. Bano bawadde ekya Bebe Cool eyagobeddwa ku siteegi olw’okumulabira mu kifaananyi ky’ebyobufuzi.
Ng’ogyeko abayimbi, bagamba ekibiina kigendereddwamu kukyuusa bavubuka okuva mu bikolwa by’obumenyi bw’amatteeka n’okubabuulira obutakirizza kukozesebwanga entakera mu bikolwa by’okwekalakasa nti kubanga bino bangi bafuniddeyo ebizibu abalala bangi bali mu makkomera.