Bino abyogeredde ku mukolo gw’okwanjula e Nkumba, Jane Francis Nalubyayi kwayanjulidde George Mugambe.
Oweek Kaawaase awadde ensonga lwaki abasajja bawasa abakyala, “tuwasa abakyala olw’obulungi bwabwe, olw’eddiini zaabwe, olulyo lwabwe, olwa ssente zaabwe”. Wabula asabye George obutatunuulira ssente za mukazi kubanga obwetaavu mu maka butandikira ku musajja.
Jane Francis Nalubyayi muwala wa Oweek Noah Kiyimba Minisita wa Kabaka ow’amawulire, Kaabineyi, Olukiiko, Pulotoko, era Omwogezi w’Obwakabaka.
Omukolo gwetabiddwako abagenyi ab’enjawulo nga bwebamenyeddwa wammanga.
Omulamuzi Ann Mugenyi.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita wobuyiiya n’enzirukanya yemirimu Oweek Assoc Prof Twaha Kigongo Kaawaase,
Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro era Minisita webyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka Oweek Robert Waggwa Nsibirwa,
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek, Patrick Luwaga Mugumbule
Omumyuka w’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Ahmed Lwasa.
OMulangira David Kintu Wasajja
Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba
Oweek Henry Kiberu Sekabembe
Oweek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma
Oweek Hajji Amisi Kakomo n’Omukyala
Oweek Charles Bwenvu
Oweek Sylivia Mazzi
Oweek Florence Bagunywa
Oweek Kabuuza Mukasa
Oweek Prof. Badru Kateregga
Oweek Hasfa Nalweyiso
Omuwandiisi wenkalakkalira Omuk. Nantege Josephine, n’omumyukawe Peter Zzaake
Ssentebe Buganda Twezimbe John Fred Kiyimba Freeman.
Ssenkulu wa BBS Terefayina, Patrick Ssembajwo,