Waliwo abayisiraamu abakubye Ssaabawolereza wa Gavumenti mu kkooti enkulu mu Kampala nga baagala okuliyirirwa olw’ebitongole eby’ebyokwerinda okulinnyirira eddembe lyabwe ery’obwebange, bwebyalumba emuzikiti gw’e Nakasero n’e Kiwatule mu mwezi oguwedde ne batandika okugwaza.
Ekibinja kino eky’abayisiraamu kikulembeddwamu omwogezi w’omuzikiti gw’e Nakasero, Sheikh Habib Buwembo nga baagala kkooti eyise ebiragiro ebikugira Police okubanga erumba emizikiti egyenjawulo okugyaza nga kwotadde n’okugiragira okuzza ebintu byeyatwala omuli ebyuma bi Kalimagezi, obutambi obw’enjawulo, ensimbi ne fayiro z’omusango zebagamba nti Polive yaziggya ku mizikiti gino.
Buwembo wamu ne banne bagamba nti police nga eri wamu ne Military baalumba omuzikiti gw’e Nakasero mu kiro nga 27, Ntevu 2016, nga tebalina na kiwandiiko kibawa lukusa, kyebagamba nti kuba kulinnyirira ddembe lya Buyisiraamu naddala ery’okusinza .
Abantu bano bagamba nti mu bintu ebyatwalibwa mulimu ne fayiro y’omusango erimu obujulizi obwandiviiriddeko Sheikh Yunus Kamoga okwejjeerezebwa mu misango egyamuggulwako egyekuusa ku Bayisiraamu abazze batirimbulwa okuli Sheikh Mustafa Bahiga ne Sheikh Hassan Kiirya.
Abayisiraamu bano era banenya ekitongole ekiramuzi wamu n’omulamuzi omukulu Yorokamu Bamwine okubikkirra omulamuzi agambibwa okuba nga yalagira emizikiti okwazibwa. Wabula Police gyebuvuddeko yavaayo neetegeeza nti yayaza emizikiti gino oluvannyuma lw’okutemezebwako omu ku baali mu kaduukulu nti omuzikiti gw’e Nakasero mulimu eby’okulwanyisa ebikozesebwa mu kutirimbula abayisiraamu.
Kkooti tennabaako mulamuzi gwewa musango guno gube nga tutandika okuwulirwa .