Abayizi 15 abakwatiddwa olwokwekalakaasa basindikiddwa ku alimanda

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road olunaku olwaleero asindise Abayizi ba Makerere University ne Kyambogo University 15 ku alimanda okutuusa nga 18-5-2021. Bano bakwatiddwa olunaku olweggulo ku Palamanti mu Kampala bwebabadde bekalakaasa nga balaga obutali bumativu bwabwe olwobutabaawo kikolebwa ku miwendo gy’ebintu egyekanamye.

Leave a Reply