Police e Kayunga eri ku muyiggo gwa mukazi agambibwa okuteeka obutwa mu mmere y’abayizi b’essomero lya Kangulumira Church of Uganda Primary School, nga wano abaana abasoba mu 60 baddusiddwa mu ddwaliro nga taasulewo, taasiibewo y’ali ku mimwa gy’abantu.
Omukazi ono kigambibwa nti yawadde abaana bano ebijanjaalo byeyakukusizza n’abiyingizza mu kisulo ky’abayizi .