Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere banyoomye ekiragiro ekyabaweereddwa Police okwamuka ebisulo eby’enjawulo oluvannyuma lw’okuggala ettendekero.
Bano bagamba nti kikontana n’amateeka kubanga ettendekero ekkulu ery’ e Makerere ssiryeliddukanya ebisulo mwebasula.
Omwogezi wa, Police Andrew Fellix Kaweesi ku lwokusatu lwa ssabbiiti eno yalagira abayizi bonna abali mu bisulo eby’enjawulo awamu n’ebisulo ebiriraanye ettendekero okubyamuka mangu naye nga kino kyava ku Pulezidenti Museveni okuggala ettendekero lino oluvannyuma lw’abayizi awamu n’abasomesa okwediima .
Wabula byo ebisulo eby’enjawulo byawalirizibwa okusaba abanyizi okwamuka ebisulo bino nga byawandiika ebiwandiiko naye bo abayizi bagamba nti baamala dda okusasula ebisale eby’ebisulo byonna nebabimalayo y’ensonga lwaki tebagenda kubyamuka kubanga ettendekero ly’e Makerere ate ssiryeriddukanya ebisulo mwebasula .