Abayizi ba S.4 bafiiriddewo mu kabenje – Bombo

Kitalo,  abayizi ba Ndejje SS Luweero basatu bafiiriddewo mbulaga  mu kabenje akagudde ku 19 ku luguudo oluva e Kampala  okudda e Bombo,  

Abayizi  bano babadde bava ku ssomero  kukebera ku ngeri gyebaakozeemu ebibuuzo  byabwe ebya S. 4 emmotoka yaabwe mwebabadde beevugira etomereganye ne Ttipa bwenyi ku bwenyi era kwekufiirawo. 

Abafudde be,  Male Vincent, Sewajje Isaac,  Muwanguzi Sedrick. Wabula ate Omuvubuka abadde avuga banne Mutabani wa tawuni Kiraka wa Kasangati era nga nemukujjawo emmotoka kitaawe yabadde amugaanyi okugitwala ye n'agitwala nga tafunye lukusa. Kitalo! 

Leave a Reply