Abayizi n’abasomesa basimbira Kabuyonjo layini – Mubende

Abayizi awamu n'abasomesa ku ssomero lya Gavumenti  erya Lulongo Primary School mu Disitulikiti y'e Mubende bawanjagidde Gavumenti  ebataase ku mbeera gyebayitamu oluvannyuma lw'abayizi n'abasomesa okutandika okulwaniranga kabuyonjo emu bweti gyebalinawo songa nayo eri mu mbeera mbi ddala.

Essomero lino erya  erisangibwa mu Ggombolola ye Madudu liweza abayizi 400 kyokka nga balina kabuyonjo emu yokka nga yeyambisibwa abayizi, abasomesa ssaako n'abagenyi ababeera bakyadde ku ssomero lino. 

Sanyu Ruth,  omusomesa ku ssomero lino annyonnyodde nti abayizi naddala ab'obuwala embeera ya kabuyonjo eno ebanyigiriza byansusso naddala bwe batuuka mu nsonga nga  bangi ku bano basalawo n'obutajjira ddala ku ssomero nga kino kibaviiriddeko okuwanduka mu ssomero.

Bo abamu ku bayizi betwogeddeko nabo ku ssomero lino bategezezza nti ebiseera ebisinga batuuka n'okuka ayanira kabuyonjo n'abasomesa nga n'abamu batandise okukozesa ennimiro eziriraanye
essomero lino.

Ye akulira essomero lino Kigongo Eugenie ategeezezza nti embeera eno emusobedde nga n'olumu akwatibwa ensonyi okulaba nga abasomesa n'abayizi bakaayanira kabuyonjo oluusi nga n'abasomesa basalawo okwosa bwebaba bafunye obuzibu mulubuto kuba ekifo webetawuliriza kiri mumbeera mbi.

Leave a Reply