Ministry of Health- Uganda evuddeyo netegeeza nti egenda kuvunaana abantu abo bonna abavaayo neboogerera obubi eddagala erigema ekirwadde kya COVID-19 kyebagamba nti kyaviirako abantu obutajjumbira kwegemesa eddagala nerituuka nokwonoonekera mu tterekero.
Daniel Kyebayinze, Dirrecor Public Health bwabadde ayanukula ebyafulumira mu alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya Gavumenti eyategeeza nti eddagala erigema COVID-19 lya buwumbi 28 lyakwookebwa kuba lyayitako, agambye
nti abantu bangi bavaayo nebalyogerera bubi nnyo nategeeza nti kati kekaseera basasulire kyebakola.
Ono agamba nti eddagala lino ligenda kufiiriza Gavumenti ssente mpitirivu ngoggyeeko ezaliggula wabula neezo zebagenda okukozesa okulyokya.
Ono agamba nti bagenda kweyambisa Minisitule ya ICT okunoonye abo bonna abayogera ebikikinike ku ddagala lino.