Abakungu okuva mu Minisitule ye byenjgiriza bagamba nti newankubadde gavumenti yasaawo okusoma okwobwereere mu Ssekondale ne Pulayimale , abazadde abamu beesuliddeyo gwa Nnaggamba okutuukiriza obuvuunaanyizibwa bwabwe okuwa abaana baabwe ebyetaago by’essomero ekiviiriddeko abaana bangi okuwanduka mu masomero mu byalo .
Alfred Kyaka Commissioner w’ebyenjigiriza bya secondale mu Minisitule ye byenjigiriza n’emizannyo agamba nti okunoonyereza kulaga nti abaana abamu bawanduka mu masomero olw’abazadde abamu obutategeera mugaso gwa kusoma .
Kyaka ayongerako nti abazadde abamu balowooza nti Gavumenti y’erina okuwaayo buli kimu ky’agamba nti kikyamu nga balina okukyusa mu ndowooza eno .
Okutuuka ku bino abadde ayogerako eri abakulu b’amasomero n’abakungu okuva mu kitongole kya BRAC – Yuganda ekiyambako ku bayizi abalina ebitone eby’enjawulo naye nga bava mu maka agatalina busobozi bumala mu by’enfuna .