Abazadde b’omwana eyakubwa amasasi, aba UPDF babalekera 6000 kababeezeewo

Famire y’omwana ow’emyaka 8 eyakubwa amasasi 2 abebyokwerinda bwebaali bakola ekikwekweto mu Kampala eyagala kuliyirirwa n’obwenkanya.
Christine Ainembabazi, ng’atunda mmanda mu Namere zone e Kawempe, mu Kampala tasobola kwerabira lunaku lwa 9 January 2022, omwana we ow’emyaka 8 Ibrahim Kiddawalime bweyakubwa amasasi 2 ku kugulu ne mu lubuto abasirikale abaali balina gwebagoba okukwata.
Kiddawalime akyafuna bujanjabi okuva ku St. Stephens’s hospital e Mpereerwe, yakubwa amasasi 2 mu kugulu n’olubuto bweyali azannya ne baana banne wabweru w’ekibanda kya Maama we eky’amanda.
Maama we yenna nga n’amaziga gamuyitamu yategeezezza Radio Simba, nti ku lunaku olwo abasirikale abakuba mutabani we amasasi nga bagoba omumenyi w’amateeka olwamala okukuba omwana we amasasi tebayimirira.
Nti wabula nga 11-January-2022, abasirikale ba UPDF bajja mu Ddwaliro nebakiriza nti ddala balumya omwana ono mu butanwa nebeyama okusasula ebisale by’eddwaliro ezitanaggwayo.
Ainembabazi agamba nti amaggye gakomyeewo negasasula ekitundu ku ssente z’eddwaliro obukadde 10 wabula nga eddwaliro likyagaanyi okumulongoosa omulundi ogwokubiri nga tebanamalayo ssente.
Ainembabazi ne bba Abdulla Kimulu eyasuulawo omulimu gwokuvuga takisi ajanjabe omwana we bagamba nti ngogyeeko okusasula ekitundu ku ssente z’eddwaliro kyabaggwako abasirikale bwebabawaayo nnusu 6,000/= kabayambeko.
Bano basaba eggye lya UPDF okubaliyirira olwomwana waabwe alabika nga obulamu bwe tebugenda kusigala kyekimu.
Kimulu ayagala bakwate era bavunaane omusirikale oyo omulagajjavu eyakuba omwana we amasasi eritali limu kumpi kubula kusaanyaawo bulamu bwe.
Twagezezaako okwogerako n’omwogezi w’eggye lya UPDF (UPDF Spokesperson) Brig. Gen. Felix Kulaigye wabula byonna byagudde butaka. Wabula ye omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire yategeezezza nga bwebakyanoonyereza ku nsonga eno ne Poliisi y’e Kawempe.
Bya James Kamali
Leave a Reply