Abazigu ababadde babagalidde emigemera wala balumbye ekyalo Bamugolodde mu ggombolola ye Kalonga ekiri mu disitulikiti ye Nakasongola mu kiro ekikeesezza olwaleero ne bamenya amaduuka nebabba ensimbi, nebakuuliita ne pikipiki ate nebatta n’omusajja omu nga ye Geoffrey Java nga yava Busoga, abadde mupakasi.
Ssentebe w’ekyalo kino omw. Fenecansi Kimeze akakasizza bino era agamba nti ssente ezibbiddwa tezinnategeerekeka muwendo era kati police ye Nakasongola eri ku muyiggo gwa bazigu bano.