Waliwo abazigu abalumbye poliisi ye Nakulabye mu Kampala ku ssaawa nga 10 ez’ekiro ekikeesezza olwaleero wabula abaserikale babalabuukiridde mangu nebabaanukuza n’amasasi era okukakkana nga babasuuzizza ‘magazine’ ya masasi. Okwawukanako n’obulumbganyi obuze bukolebwa ku Uganda Police Force endala tewali muserikale wadde omuntu wabulijjo atiddwa wadde okukosebwa.