Poliisi mu Mabira eri ku muyiggo gwa bazigu abaasazeko omukozi w’ekibiina ekiwola ssente ekya Brac nebamunyagako ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde ekkumi ku kyalo Buwoola ekisangibwa mu Divizoni y'e Najjambe
Okusinziira ku Kkansala w’ekitundu kino Nathan Mukiibi, agamba nti omukozi w'e Kitongole kino ekya Brac bw'abadde adda ku yafeesi zaabwe e Jinja oluvanyuma lw’okukunganya ensimbi okuva mu ba memba wabula bwe baabadde ku kubo abazigu kwe kufubutuka mu kibira nebabateeka ebiso ku bulago bw’omugoba wa bodaboda bwebatyo nebalagira omukyala ono abawe ensimbi.
Oluvanyuma lw’okumuggyako ensawo omubadde ensimbi, abazigu badduse nga badda mu kibira Mabira