Omusajja ateeberezebwa okuba omubbi w’ente aweweenyuddwa emigoba nte egimuserengesezza e kalannamo mu Disitulikite y’e Bugiri.
Omusasi waffe obuuyi obwo Willy Basoga Kadama atutegeezezza nti omusajja ono Tabu Aramanthan atemera mu myaka 35 egyobukulu nga mutuuze mu Disitulikitu y’e Mayuge naye abadde azze ku kyalo Nabusiisi e Bugiri okukyalira ku mwannyina.
Wabula bw’abadde asimbula okuddayo e wuwe, n’akuuliita n’ente ya mukoddomiwe era abadde ayitira mu nsiko nayo, abatuuze nebamugwa mu buufu era nebamukuba egimumizizza omusu.