Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, akubirizza abantu ba Buganda okujjumbira okukiika embuga bategeere emirimu gyayo bwe gitambuzibwa.
Bino Owek. Mugumbule abyogedde bw’abadde atikkula Oluwalo enkya ya leero oluleeteddwa Bannabuddu okuva mu ggombolola: Mutuba XIX Kasasa; Mutuba XIV Malongo; Mutuba 1 Buwunga; Mutuba XVII Nabigasa ne Mutuba IV Kiyebe.
Agambye nti abantu bwe bakiika embuga, bamanya ebifaayo ate n’okunyweza oluganda nga bamanyagana.
Abasabye okutwala Oluwalo ng’obuvunaanyizibwa bwe balina okutuukiriza okusobozesa Obwakabaka okokula emirimu egiyamba abantu.
Ye Ssaabawolereza w’Obwakabaka era Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Oweek. Christopher Bwanika, asabye abaami ba Kabaka okunyweza obukulembeze ku mitendera gyonna okuviira ddala ku byalo.
Akubirizza abaami okwewala okwenyigira mu mivuyo gy’ettaka, naddala okufulumya endagaano nga tebalambikiddwa minisitule eya Gavumenti ez’Ebitundu n’ekitongole kya Ssaabawolereza mu Bwakabaka eky’eby’amateeka.
Asiimye nnyo ababaka ba Palamenti abeenyigira obutereevu mu nsonga za Buganda.
Omumyuka wa Pookino Owookubiri, Mw. Payinento Yiga, akuutidde abaami ba Kabaka okulambika abantu ku bbaluwa ey’obusika entogole eyalambikibwa Abataka ab’Obusolya ku nsonga z’okwabya ennyimbe, okwewala okussaako abasika abatatuukiridde, ate n’okwewala enkaayana mu bika.
Omubaka wa Kakuuto mu Palamenti, Hon. Geoffrey Lutaya, asabye abazadde okutambulanga n’abaana nga bajja e Mengo, nabo bafune omwoyo gwa Buganda Ogutafa.
Agambye nti bwe tulambika obulungi abaana ne babaamu ensa, tujja kufuna abakulembeze ab’obuvunaanyizibwa, abanaakuuma eby’obugagga by’ensi yaffe.
Baleese oluwalo olusobye mu bukadde 19.