Ab’e bwaise batabukidde aba KCCA

Abatuuze  b’e Bwaise batabukidde abakozi ba KCCA abaagenze okubasomesa ku musolo gw’amayumba nga bagamba nti  ssente ze babasolozaamu tezirina we zibayambira ng’abawi b’omusolo.

Abakozi ba KCCA abaavudde ku City Hall baakubye olukiiko mu muluka gwa Makerere III okusomesa abantu ku musolo gw’amayumba (Property Tax) ng’abatuuze baasoose kubawa kakwakkulizo nti  nga tebannayogera kintu kyonna basooke babakakase nti emisolo emikadde gyaggyiddwawo oba si kyo tebabaako kye boogera.

Abatuuze okuva mu mbeera kyaddiridde KCCA okubanja omusolo omukadde ng’ebipapula ebibanja omusolo guno okuva mu 2005 babiwadde n’amayumba agatasulamu bantu nga kati bifulukwa oluvannyuma lw’okwonoonebwa amazzi. Baagasseeko nti mu 2005 pulezidenti yayimiriza abatuuze b’e Kawempe okusasula omusolo gw’amayumba olw’amazzi agabatawanya.

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na mu KCCA muli bafere mutuuka mutya okubanja ekifulukwa obukadde 7 okuggyako nga mwagala kutwala poloti zaffe tugaanyi,” abatuuze bwe baategeezezza.

Jane Nambi omu ku batuuze yategeezezza nti waliwo n’ebizibu ebiri mu bitundu ng’okulwawo okuyoola kasasiro, emyala egitagogolwa kyokka ng’omuwi w’omusolo byalina okufunamu.

Owa KCCA eyategeerekeseeko erya Kemala yategeezezza nti tewali asobola kwewala misolo ate ku ky’emisolo emikadde yagambye nga bbo abakozi tebakirinaako buyinza okuggyako gavumenti y’ekisazeewo

Leave a Reply