Abatuuze b’e Kabowa batadde meeya wa munisipaali ya Lubaga Joyce Nabbosa
Ssebugwawo ku nninga annyonyole lwaki KCCA eremeddwa okukola omwala gwa
Nalukolongo.
Bano okuva mu mbeera kidiridde okulumbibwa ekirwadde
kya kkolera n’ekitta n’abamu ku bannaabwe ate ng’abalala bali ku ndiri
mu ddwaliro e Nagggulu.
Ssebugwawo okumuteeka ku nninga yabadde
agenze okwegatta ku batuuze ne KCCA okukola bulungi bwansi n’okulambula
zooni ezikoseddwa ekirwadde kya kkolera okuli Ssembule I ne Kironde era
ng’eno ne bweyatukiddeyo ng’eriyo abaana babiri abakwatiddwa kkolera