Ab’ekitongole ekiddukanya amasannyalaze mu District y’e Kalangala Ki Kalangala Infrustructure Service Limited (KIS) balagiddwa beewozeeko ku kigambibwa abantu abenjawulo mu District ye Kalangala nti amasannyalaze gaabwe ga buseere nga n’abantu abenjawulo babbibwa olw’okuweebwa amasanyalaze amatono.
Abatuuze mu district y’e Kalangala bamaze ebbanga nga beemulugunya nti ekitongole kino kizze kibawa amasannyalaze matono ddala songa basasula ensimbi nnyingi .
Kyokka mu kwogerako eri ab’amawulire ku Kitebe kya Kalangala Infrustructure service Limited, Akulira ba Kitunzi ba Kampuni eno Joseph Mulindwa ategeezezza nti newankubadde nga abantu beemulugunya, ekitongole kyabwe bakilanga bwemage nga emiwendo gy’amasanyalaze gigelekebwa ekitongole kya Electricity Regulatory Authority nga nabo emiwendo gyegimu gyebalina okugobelera.
Mulindwa yategeezezza nti ekitongole kino kikyalina okusoomoozebwa kwa maanyi ddala nga amasannyalaze mangi ku gaweebwa abantu mu Kalangala tegakozesebwa ekireetedde kampuni eno okubanga ekyakolera mu kufiirwa.
Ekitongole kya Kalangala Infrustructure Services Kyaweebwa omulimu gw okuddukanya amasanyalaze ku Kizinga Buggala okuva Ku Kampuni eya Uganda Electricity Distribution Company Limited era nga bano bamaze ebbanga lya myezi etaano nga batambuza amasannyalaze gano.