Ab’e Kiboga bakukulumidde Offiisi ya Ssaabaminisita olwokubawa ebijanjaalo ebivudde

Abatuuze mu Gombolola y’e Kyoomya Disitulikiti y’e Kiboga banyiivu eri offiisi ya Ssaabaminisita olw’okubawa ebijanjaalo ebikadde era berarikirivu nti byandibatuusaako obulabbe.
Abatuuze mu kwogerako ne Radio Simba bategeezeza nti ebijanjaalo bikadde nnyo nga bijjudde nekawukuumi nti era okubifumba birwaawo okuggya, nga nebwobisiga tebiyinza kumera, wano webasabidde Gavumenti okubawa ebijanjaalo ebiri mu mbeera ennungi.
Kinajjukirwa nti amagombolola 2 okuli Kyoomya saako ne Nakasozi gaafuna kiro10,000 ezakawunga ka Kasooli saako n’ebijanjaalo okuva mu Office of the Prime Minister eri abatuuze abakosebwa enkuba eyalimu kibuyaga omungi n’omuzira kyokka ab’e Kyoomya bagamba nti ebijanjaalo ebyabaweereddwa tebisobola kuliibwa muntu.
Ye Ssentebe wegombolola ye Kyoomya Kayita Godfrey agambye nti alabyeeko ensawo ezimu ezebijanjaalo nga ziwunya ekitegeeza nti bibadde bivundu kyavumiridde nti sikyabwenkanya Gavumenti okugaba ebintu mungeri eyokubyejjako nti kubanga biyinza okulwaza abantu.
Courtesy Photo;
Leave a Reply