Abatuuze ku kyalo Kiryokya mu ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Mityana bakedde kwekalakaasa nga bawakanya eky’okuggalawo Uganda Police Force yaabwe nebagigatta ku Poliisi ye Mutetema nga kati gyebalina okuddukira singa baba n’obuzibu bwonna.
Abatuuze ababadde tebasalikako musale bategeezezza nti eky’okuggyawo Poliisi yaabwe kigenda kuwa abakozi b’ebikolobero ebbeetu okutigomya ekyalo kubanga abaserikale ababadde babakomako bavuddewo.