Ab’e Kitgum basazeewo kweriira nzige

Omuganda agamba nti; amaziga g’ente, ly’essanyu lya malembo, olugero luno lutuukira ku bantu b’omu Disitulikiti y’e Kitgum abenyumiriza mu kulumbibwa kw’enzige. Abatuuze bagamba nti bbo basazeewo kwekwatira nzige zino ezalumbye eggwanga era nga bazifumba nga kyakulywa.Kigambibwa nti enzige ezazinze ebyalo okuli Gogo ne Abudere mu Muluka ggwe Lukwar mu Gombolola ye Labongo Akwanga ku lwokubiri zalabiddwako nga zibuutikidde amatabi g’emiti wamu n’omuddo okuwereza ddala kiromita 3.
Wabula abatuuze mu bitundu bino basuze bakuba kudiikudde era webwakeeredde ku lw’okusatu abatuuze batandise kwekwatira nzige zino kugenda kuzifumba nakweriira. Kutansia Anena 60, omutuuze w’e Gogo agamba nti enzige bazirya nga edda nti era bweyazirabye yabuusizza kumu nga kunguvu nga namakungula tegaali malungi omwaka oguwedde. Ono agamba nti basooka kuzitokosaako nebazaanika n’oluvannyuma nebazisiika nga tebanazirya.
Ye Christine Abalo, omutuuze w’e Gogo nga alina abaana 5 agamba nti yazikutte kulaba oba ziwooma kuba abakulu babagambye nti nnungi nnyo.Wabula y’e Beatrice Alanyo, agamba nti yakutteyo ebbaafu bbiri wabula nga alindirira abakulu ku Disitulikiti okubategeeza oba nga tezirina bulabe ku muntu aziridde kuba Gavumenti yabadde emaze okuzifuyira eddagala.

Leave a Reply