Abatuuze abasengulwa mu Lusanja eMpererwe bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa Kkooti enkulu evunaanyizibwaku nsonga z’ettaka bwevuddeyo netegeeza baddeyo ku ttaka lyabwe. Omulamuzi John Eudes Keitirima asazizaamuekiragiro ekyayisibwa omulamuzi omukulu ow’e Nabweru nga kigoba abantu abasobamu 500 ku ttaka eriweza hectares 3.89 nga liweebwa omusuubuzi Medard Kiconco. Okusinziira ku Mulamuzi Keitirima,agamba nti Omulamuzi w’e Kkooti y’e Nabweru Esther Nasambu teyayina buyinzakuwulira musango gusussa nsimbi za Yuganda obukadde 50 nga gino girinakuwulirwa Kkooti nkulu yokka. Ettaka lino Kiconco lyagamba ntilirye lyali lyakuteekebwako enkulaalana ya bukadde 200 okusinziira kubiwandiiko ebyayisibwa KCCA. Omulamuzi Keitirima era anenyezzaomulamuzi Nasambu olw’obutatuuka ku ttaka lyali likayanirwa nga tasalawo kikiekiyinza okukolebwa. Kkooti enkulu era ekitegeddeko ntiabantu bano basengulwa nga tebaweereddwa Summons okusobola okuwaayo okwewozaakokwabwe nga balaga ebiwandiiko ebyoleka obwannanyini ku ttaka mu kkooti.Okusinziira ku Kkooti Summons zaweebwa Ssentebe wa LC1 y’e Ssekanyonyi HenerySsejjemba so nga ate okusengulwa kwakolebwa mu Lusanja abataali mu musango. Omulamuzi abaddiza ettaka lyabwe wabulan’abategeeza nti bwebaba baagala okuliyirirwa ennyumba zaabwe ezamenyebwan’ebintu byabwe ebyayonoonwa balina kuwaaba musango mulala.