Abatuuze okuva mu bitundu okuli Kabashaki, Karuhembe, ne Kekebisoni mu
distulikiti y’e Rukungiri balumbye ekitebe kya distulikiti eno okulaga
obutali bumativu ku ngeri ebintu byabwe gyebitwalibwamu.
Ebibakaayanya kuliko emmere n’ettaka kwebagirima. Bagamba waliwo
abazimba ku ttaka lyabwe nga tebasosse kubeebuuzaako nebazimbako
essundiiro ly’amazzi aga project eyatuumibwa Kahenju Water Project.