Amagye ga UPDF ne Police batandise okulawuna ekibuga Mubende olw’abantu abatandise okutisaatiisa okutuusa obulabe ku bantu b’ekitundu kino .
Aduumira Police e Mubende Patrick, Byaruhanga ategeezezza nti kino kiddiridde ebibaluwa mukaaga byebaakutte nga biwandiikiddwa abantu abatannategeerekeka nga bitiisatiisa okutuusa obulabe ku Bannamubende.
Byaruhanga ategeezezza nti ebibaluwa bino bisuulibwa ku mayumba g’abatuuze mu matumbi budde era nga n’ekikyasembyeyo kyalaalise bebaakisuulidde okweteekateeka n’essente baziteeke ku milyango gyabwe oba ssi ekyo bagenda kubatemaatem. Patrick annyonnyodde kino kibawalirizza okufuna Amagye ga UPDF okukwasizaako Police nga bano basula balawuna ekibuga Mubende kyonna era wano nebasaba abantu mu kibuga kino okukomya okutambula ekiro ate n’okulonkoma ensonga yonna gyebeekengera eri Police.