Ekitongole ky'ebyobulamu mu Disitulikiti y'e Wakiso kiggadde amasomero 12 mu ggombolola y' e Mende mukaweefube w'okukuuma obuyonja.
Kino kiddiridde Minisitule y’obutonde bw'ensi n’amazzi okulangirira ssabbiiti eno yonna okuyonja n'okutunuulira eby'obutonde byonna omuli ebibira, entobazzi ate n'amazzi amayonjo.
Ekibinja ekikulembeddwamu Kintu Simon Peter omumyuka w'akulira eby'amazzi mu Disitulikiti eno, kibaddeko abasawo, police ab'emiruka era batalaaze ebyalo ebiwerako.
Agamu ku masomero gebaggadde kwekubadde n'erya Fatumah Islamic Centre, eribadde lisuza abaana abasoba mu nkaaga mu kazigo akafunda okutali ddirisa ate nga n'bawalala tebalina wasulwa.