Abakulira ebyobulamu mu Municipaali y’e Nansana baggaddewo amaduuka n’obulwaliro wamu ne lufula y’embizzi mu Kibwa nebalabula abakulembeze awamu n’abasawo obuteeyibaala okuloopa obukyafu n’abantu abatakolera mu mateeka .
Ng’ oggyeko amaduuka, ebinywero awamu n’amalwaliro okuggalwa mu kikwekweto ekikoleddwa ku kyalo kibwa mu Divisiona y’e Nansana era mu Municipaali eno, abasawo ababadde bakulembeddwamu Robert Kagwire, bagaddewo Lufula abatuuze gyebagambye nti ebadde ebafuukidde ekyambika olwokuwunya ate n’okutambuza obukyafu.
Robert Kagwire akakasizza nga omutawaana gwonna bwebaguzudde nga guva kubulagajjavu bwa bakulembeze ate n’abasawo b’ebyobulamu.
Ayongeddeko nti eno ebadde ntandikwa naye bagenda kutalaaga kyalo ku kyalo beezuulire ebintu ebiviirako abantu abalwala obutakoma nga banoonya zi bbukya , zi kaabuyonjo, abamala gasuula kasasiro n’ebirala.
Bo abatuuze batendedde abasawo ennaku gyebazze balaba olw’ekivundu, obukyafu obuvuddeko n’abaabwe okulwala buli kadde.