Abebyokwerinda bayodde 15 e Kawaala

Abebyokwerinda ababadde babagalidde emigemera wala nga batambulira mu motoka ezakazibwako erya Drone olunaku lweggulo ku ssaawa nga 4 ez’ekiro bayodde abantu 15 ababadde ku lumbe okuva mu Kawaala zone 3 mu Lubaga mu Kampala.
Okusinziira ku berabiddeko nagabwe bagamba nti abantu bano batwaliddwa abasajja ababadde n’emmundu ababasanze mu lumbe nga bakungubagirako mukwano gwabwe eyafiiriddwa owoluganda lwe nebabakira mu Drone ezabadde zirinze.
Omwogezi wa Uganda Police Force mu Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango yakakasizza okukwatibwa kwabano nategeeza nti Poliisi yabadde ekimanyiiko nti era bategeezezza ne ku OC wekitundu. Wabula nayongerako nti ekyemisango egibavunaanibwa tebakimanyiiko okuleka ekyokubakwata.
Leave a Reply