Ekitongole ekirwanyisa obukenuzi n’obuli bw’enguzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga ekya Anti Corruption Unit of State House nga kikolera wamu n’ebitongole by’ebyokwerinda ebyateereddwawo okulwanyisa ekirwadde kya COVID19 bagenze ku nsalo y’e Eregu mu Disitulikiti y’e Amuru nebakwata abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’abeggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces ababadde batulugunya Abakyala bebasanze mu lodge mu budde bwa curfew nga bagamba babadde bateekesa kiragiro kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu nkola.
Nga 3 – April amaggye ne Poliisi bazingako loogi ya Auma Margaret, Chairperson wa Elegu Women Cross-boarder Traders Savings and Credit cooperative Society ne bazingako Abakyala n’Abaami nga nabamu baali bukunya nebabavulunga mu bitoomi saako n’okubakuba.
Abasirikale ba Poliisi 11 wamu n’abamaggye 6 bebakwatiddwa . Aba UPDF 6 bakusimbibwa mu maaso ga Kkooti ya 4th Division nga 7 – April.
Abasirikale ba Poliisi kuliko; ASP Barenzi Richard, Sgt. Musasizi Charles, Cpl Odongo Jacob, PC Opado Moses, PC Opio Augustine, PC Okello Bosco, PC Okello Jimmy, PC Sentamu Richard, PC Byamukama Constatine, PC Funga Nelson ne PC Busingye Alla, ate aba UPDF kuliko; Lance Corporal Awinyi Abor Constatine, Pt Makanga Muhammed, Pt Eboku John Mack, Pt Mutenga Robert, Pt Ayo Silverster ne Pt. Ahimbisibwe Emma.
Oyo yenna eyatulugunyizibwa mu kaseera kano aka curfew wekubire enduulu eri Lt Col Nakalema, ku nnamba eyobwereere 0800202500 oba 0778202500 ku WhatsApp.