Abakulira eddwaliro lya Case Hospital mu Kampala bagamba nti bagenda kuwaayo eri Famire y' Omugenzi Mowzey Radio obukadde 29 ezaali zisasuddwa ku bujjanjabi mu ddwaliro lino.
Mowzey yaleetebwa mu ddwaliro lino ng'ali mu mbeera mbi okuva mu ddwaliro ly'e Nsambya era n'ateekebwa mu kasenge k'abalwadde abali mu mbeera embi ddala wabula nga okusooka weetaagisaawo ssente okumujjanjaba era mu mbeera eno nga `kyetaagisa ssente nnyingi, Famire ya Radio yasaba okuyambibwako era bw'atyo Pulezidenti Museveni n'awaayo obukadde asatu obwa Yuganda ate ne Bryan White n'awaayo obukadde 25.
Wabula baakawaayo ensimbi zino ate waayita nnaku bunaku Mowzey Mukama Katonda n'amujjulula mu bulamu bw'ensi eno . Ye Balaam omutegesi w'ebivvulu era abaddewo ennyo mu nsonga za Radio ategeezezza nti baali baakakozesaako obukadde 26 bwokka era ssente ezigenda okukomezebwawo zaakuweebwa Famire ya Mowzey zibayambeko.