Uganda Police mu Disitulikiti y’e Kayunga etandise okunoonyereza ku bubbi obw’emmundu obwakoleddwa mu kiro ku bbalaza kinnya na mpindi ne CPS e Kayunga.
Ayogerera Poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa Hellen Butoto agamba nti obubbi buno bwabaddewo ku sssaawa 3 ez’ekiro ku kitebe kya Disitulikiti y’e Kayunga kumpi n’ekitebe kya Poliisi e Kayunga.
Omu ku babiddwa Aramanzan Sabiiti n’abasuubuzi abalala 34 bagamba nti nti babadde bava mu Katale kamubuulo e Bbaale nga bali ku loole nebaggwa mu loodibulooka eyabaddeko abasajja 4 nga babagalidde emmundu era nga bali mu Yunifoomu y’eggye lya UPDF mu kitoogo ku luguudo lwa Kayunga – Bbaale ababalagidde okwebaka ku ttaka oluvannyuma nebabalagira okubawa ssente zonna zebalina ssaako n’amasimu gaabwe n’ebintu ebirala. Tonny Mabinda nga musawo ku Ddwaliro lya Bbaale Health Centre IV yeyakubiddwa mizibu oluvannyuma lwokubategeeza nti yabadde talina yadde ekikumi.
Abamu ku basuubuzi omusango bagutadde ku Poliisi nga bagamba nti yaluddewo okugenda okubataasa nga yadde bagitegeezezaako mu bwangu so nga n’obubbi webwabadde ziringa mita 400 zokka okuva ku Poliisi.