Kuntandikwa y’omwaka gwa 2018, Mw. James Obed ne Mukyala we Christine Nambereke 31, balowooza ku kyebayinza okukola okuvvuunuka obwavu. Baali bagezezaako okulima wabula nga teri ssuubi kutereeza mbeera yaabwe mu bulamu.
Omwaka 2018 nga guggwaako omuzira kisa yajja mu bulamu bwabwe ku kyalo Bumbo mu Disitulikiti y’e Namisindwa nga nnungi nnyo okugigaana. Ono yasaba Nambereke amutwale mu Oman akole nga omukozi wa waka, nga omulimu guno gwali mwangu nnyo okufuna ssente gyebali. Ono yali wakusasulwa emitalo nkaaga okusinziira ku mwami we Obed.
Mu bbanga lya wiiki satu zokka empapula ezimosobozesa okutambula zaali ziwedde okukolebwako era mu September 2018 Nambereke yatandika olugendo lwe okugenda mu Oman nga ayisibwa e Lwakhakha ku nsalo ya Yuganda ne Kenta n’essuubi ly’okukola afune akomewo babeere bulungi ekitatuukirira.
Obed agamba; “Nalowooza nti ensimbi zino zaali zimala okutuyamba okulabirira abaana baffe. Kino kyandetera okukiriza mukyala wange agende mu Oman nze nsigale nga ndabirira abaana. Nabenganda ze bakiriza agende era nebamwagaliza emikisa.”
Bano babadde balina abaana 7 nga omukulu alina emyaka 14 nga abasembayo balongo abalina emyaka 3. Obed ayongerako; “Twasanyuka bweyali asimbula okugenda era bwewayitawo enaku 3 yankubira essimu nantegeeza nti yatuuka bulungi era nti yatandise okukola”
Nga yakamala emyezi 3 ku mulimu Nambereke yakubira bbaawe essimu nga amusaba akwatagane neyamutwala amuyambe akyuuse amufunire omulimu awalala mu Oman. Yamutegeeza nti emirimu gyali mingi nnyo nga ate mukama we amuyisa bubi nga ayagala kudda Yuganda afune ekyokukola ekirala.
Nga 8-March Mukama we yamufunira ‘Air Ticket’ emutuusa e Nairobi, wabula nga wayise enaku 2 nga ab’ennyumba ye besunga okumwaniriza bafuna essimu nga eva Oman ng’omusajja abategeeza nga Nambereke bweyafiiridde mu kabenje ka motoka.
Malisa Nambuta mulamu w’omugenzi agamba nti babadde bagezaako okukomyawo omubiri gw’omugenzi wabula nga bikyagaanye. Ono agamba waliwo ‘Agent’ mu Oman eyabasaba obukadde 4 nebamuweereza wabula ate oluvannyuma nabasaba ssente endala zebatalina.
Mariam Mwiza, Executive Director w’ekitongole kya Over Seas Workers’ Voice Uganda agamba nti bagezezaako okuyamba ab’ennyumba ye okuva ku kitebe kya Yuganda ne Saudi Arabia etera okuyamba Bannayuganda okubakkomyawo wabula nga tebayambiddwa.
Ab’oluganda lwe bamanyi bulungi eyamukukusa era bamuwaabira ku Poliisi naye Poliisi temukwatanga.
Obed agamba nti abaana bamubanja maama waabwe nga baagala lwakiri bamuziike balabe ku malaalo ge.