Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bannayuganda naddala Abazzukulu, nga kitalo ekya Ibrahim Tusubira aka Ismba Ichuli. Nvumirira ekyokutta Bannayuganda ekikolebwa embizzi ezimu. Mbizzi zezirowooleza mukutta abantu nga zikozesa emmundu ku bantu abatalina mmundu. National Resistance Movement – NRM ennyumirwa nnyo okuwangula abagivuganya ngeyita mukukubaganya ebirowoozo. Okutta abakuwakanya kiraga nti oli mutitiizi, bwomutta olwokuba mukyaamu olwo ggwe kikufuura omutuufu?
Abatemu tebalowooza. Njagala okukakasa Bannayuganda nti abakikoze bagenda kunoonyezebwa era tubabategeeze. Mujjukira abebijambita e Masaka? Bangi bagambibwa okutta abantu bano bali mu Kkooti bavunaanibwa. Mujjukira ekibinja kya Kiddawalime?
Abamu ku bbo bafu oba bali mu kkomera. Kiddawalime ye mufu. Mpeerezza amataaba eri abafamire era State House Comptroller wakuzitwala yo. Nsaasidde nnyo aba famire ya Isma era tuli wamu nammwe era omutemu oyo wakubonerezebwa.
Ngenda kusaba Natasha anoonye ebifaananyi by’abantu baffe abattibwa Idi Amin nabatta mu lujudde mu February, 1973. Bano kwaliko; Masaba ne Namirundu e Mbale; Nkoko ne Ntale e Jinja; waliwo omu omubbi e Kampala wabula nga teyali wa FRONASA; Obwona ne Labeja e Gulu; Malibo ne Kasolo e Fort- Portal; Karuhaanga aka Muharaabu, omusomesa w’okubala e Mbarara; Karambuzi, Bitwaali ne Kangire e Kabale. Amin kyamuyambira wa? Aliwa kati era yakomekereza atya nabo abaali bamuwagira? Abatta abantu bonna mbizzi.”