Ab'obuyinza mu Lufula ya Munisipaali y'e Mbale baliko ennyama eweramu kkilo bina (400) gyebaboye n'oluvannyuma nebagikumako omuliro nga bagiteebereza okuba nga yabbiddwa mu bitundu omuli obulwadde bw'ente (Kalusu)
Kaamaadi Walusansa akulira eby'okwerinda mu lufula ategeezezza omusasi waffe mu kitundu ekyo nti oluvannyuma lw'okubalukawo kw'ekirwadde kya Kalusu mu zi Disitulikiti eziriraanyeewo omuli Bududa, Manafwa ne Butalejja, ab'obuyinza mu lufula eno nga bal;i wamu n'abebyokwerinda baasalawo okuwera ennyama yonna eva ebweru wa Mbale.
Okusinziira ku Waluswaka, ennyama eyonooneddwa ebalirirwamu obukadde buna obwa ssente za Yuganda (4 Millions Shillings )