Ab’obuyinza mu Munisipaali y’e Masaka batadde akazito ku basuubuzi abagikakkalabiza mu kitundu kino okuwangayo olunaku lumu mu wiiki nga lwakukola Bulungibwansi ‘okusobola okwegobako kasasiro n’obukyafu obufumbekedde mu Munisipaali eno.
Abatwala Munisipaali eno baagala amaduuka gaggalwe okumala essaawa ssatu buli lwakusatu olusemba mu mwezi nga Bulungibwansi agenda mu maaso era Town Clerk w’ekibuga Masaka, Paul Omoko agamba nti obukiiko bwa Divizoni essatu ezikola Munisipaali ya Masaka bwasazeewo bateekewo olunaku oluyitibwa Masaka Sanitation Day mwebagenda okuyita okuba n’ekibuga ekiyonjo