AB’OLUGANDA LWEYAFIIRA E SAUDI BATAANKANA ENFA YE

Okutuuka ku kino baamaze kufuna mawulire okuva mu kkampuni eyamutwala eya Ridar Uganda Ltd e Bukoto ng’ebategeezza ng’omuntu waabwe bwe yabadde afudde kyokka ne batamatira na nfa ye oluvannyuma lw’obutabategeeza ekyamusse.
Sarah Naherya 39, abadde omutuuze w’e Katwe Kinyoro ye yafiiridde ku kyeyo e Saudi Arabia. Aba famire bagamba nti kyandiba nga basse mutte oba nga waliwo ekkobaane nga yali atundiddwaa nga muddu. Omulambo gwatuusiddwa ku Lwakutaano oluvannyuma lw’ebbanga lya mwezi gumu n’ekitundu.
Ali Bogere mwannyina w’omugenzi yategeezezza nti Naherya tabadde na bulwadde bwonna bumuluma ng’abadde yaakamala emyezi esatu ku kyeyo. Yagambye nti bwe yali yaakatuuka e Saudi aliko abooluganda be yakubira nga mu mboozi gye baanyumya temwalimu mboozi yeeraliikiriza kuba yali afunye mulimu gwa kulabirira waka.
“Nga wayise ebbanga tuliko akatambi akaatusindikirwa nga kaakwatibwa banne bwe bagenda nga katutegeeza nga Naherya bwe yali afunye obuzibu kyokka nga tebamanyi kituufu kyali kimutuuse n’afa,” Bogere bwe yategeezezza. Yayongeddeko nti mu kusooka we bafunidde akatambi kano babadde tebanabaako mawulire gonna ge baafunye.
Robina Nayigaga muganda w’omugenzi agamba nti Naherya yamukubira essimu namutegeezza nga bwe yatabuse ne mukamawe ng’obuzibu bwali buva mu kifo bakamabe we baali bamufunidde okusula bwe waali watonya.
Yagattako nti era mukama we yali amutiisatiisizza n’okumuzza mu kkampuni gye yali avudde eya Ridar mu Uganda nti kyokka baali bakyayogera essimu n’evaako. Agamba nti okuva olwo yagezaako essimu amufune nga buteerere okutuusa ate lwe yafuna katambi nti yali afudde.
Omusawo Dr . Alaa Abudul Ghanam omukugu mu kwekebejja abafu mu lipoota ye, Omugenzi ayinza okuba nga yetta nga yeeyambisa akagoye ke yeteeka mu bulago okwetuga.
Aba kkampuni ya Ridar Uganda abaamutwala baagaanyi okubaako kye bannyonnyola ku nfa y’omuntu ono.

Leave a Reply