Kyaddaaki abatuuze abamenyebwa amayumba gaabwe ku kyalo Lusanja Kampala
wasalaganira ne Wakiso batandise okuzaawo amayumba gaabwe wakati mu
kwemulugunya nga Gavumenti bwekyusuliddeyo ogwannaggamba ku nsonga
zaabwe ate nga bakooye okusula mu weema.
Abatuuze bano bagamba nti
tebayinza kutunula butunuzi nga bebandisuubidde okubayamba buli omu
atunula kumunne nabwekityo basazeewo kusinga endagano zebagulirako
poloti zaabwe mu Bbanka bafune sente zebazimbisa.