Abasuubuzi mu katale ko mu Nnyendo mu Disitulikiti y’e Masaka
batabukidde abakozi ba Masaka Municipal Council olw’okugaana okubayolera
kasasiro kyokka nga ate basasula ssente.
Bano bategezezza nti bali mubweralikirivu nti bayinza okufuna endwadde eziyinza okubatta lwa kasasiro.
Omubaka wa Gavumenti mu Disitulikiti y’e Masaka Herman Ssentongo naye
yewuunyizza nnyo ekivundu ekibuutikidde akatale nagamba nti agenda
kugoba abakozi ba Masaka Municipal Council lwakulemererwa okukola
emirimu gyabwe.