Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Achileo Kivumbi, Gaddafi Mugumya ne Grace Smart Wakabi baleeteddwa mu Kkooti Enkulu e Masaka olwaleero okuwulira emisango egibavunaanibwa okuli okubba esweta eyakiragala n’emitwalo 20.
Kkooti eyongezaayo okuwa ensala yaayo kukusaba kwabwe okwokweyimirirwa okutuusa nga 16-April-2025.
Munnamateeka waabwe Samuel Muyizzi asabye Kkooti okuwulira omusango mu bwangu bano bafune obwenkanya.
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti lukyanoonyereza ku musango guno ogugambibwa nti baguzza mu May 2024.
#ffemmwemmweffe
Achileo Kivumbi ne banne baziddwayo ku alimanda
