Akakiko ka Palamenti alondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE kakwasizza Munnamateeka Patrick Kiconco Katabaazi eri Uganda Police Force ku Palamenti kubigambibwa nti yabulankanya obuwumbi 39 nga zino zamuweebwa ekitongole kya NAADS okusasula abalimi b’amajjaani.
Abalimi balumiriza Pathway Advocates obutabasasula ssente zaabwe zonna nga Kiconco bwalaga mu biwandiiko by’embalirira gyeyawa NAADS.
Wabula Munnamateeka Kiconco yasabye Gavumenti okusasula abantu be ensimbi ezasigalayo kuba baweebwa ebitundu 40 ku 100. Ono agamba nti abalimi bakyabanja Gavumenti ensimbi obuwumbi 75,932,763,894/=. era nti abalimi basiima emirimu gyeyabakolera nga mpaawo yavaayo kwemulugunya ku nsimbi zeyabasasula.